Uganda

Aba Uganda kwekwaffe basazizzaamu olukung'aana lwabwe e Canada

By Benjamin Ssebaggala

Aba Uganda kwekwaffe basazizzaamu olukung'aana lwabwe e Canada

Can1 703x422

BANNAYUGANDA ababeera e Canada basazizzaamu olukung’aana lwa Uganda kwekwaffe olw’omwaka guno olw’ekirwadde kya Coronavirus.

Kassim Ssali sentebe w’olukiiko olutegeka olukung’aana era pulezidenti wa Uganda Kwekwaffe in Diaspora yategeezezza nti olw’embeera yeekirwadde ekitabangudde ensi yonna tebakyasobola kugenda mu maaso na nteekateeka eno.

Olukung’aana luno lubadde lwakubeerawo nga August 30 ne 31 mu kibuga Edmonton e Canada wabula olw’obulwadde n’ekiseera ekisigaddeyo terukyasoboka.

Abategesi baasooka kuluteekawo mu April ekirwadde wekyatabukira amawanga ne gaggala ensalo n’okusazaamu ebuuka z’ennyonyi ne balwongezaayo.

Kati Ssali agambye nti bawaliriziddwa okulwongezaayo mu April 2021 kubanga ebeera eriwo tesoboseza nteekateeka kugenda mu maaso.

Annyonnyola nti abo bonna abaali baamala okwewandiisa nga bamaze n’okugoba ku Visa zabwe baakusigala nga balina omukisa okubikozesa omwaka ogujja.

Abo abaagala okwetabamu omwaka ogujja nabo baakuweebwa omukisa okwewandiisa ku ofiisi za Uganda Kwekwaffe mu Kampala.

Ssali ali e Canada mu kiseera kino embeera weyatabukira yali amaze okugenda okusobola okuttaanya enteekateeka z’olukung’aana era gye yasigala.

Football news:

Manchester United have started negotiations with Raiola to extend Pogba's contract
Luis Suarez: Our goal is to win the three upcoming matches. We will wait for real to make a mistake
Kike Setien: Barcelona didn't play a great match. Espanyol played well in defense
Andujar Oliver on deletions: Fati went too far in the foot, and the foul on the Peak was even more dangerous, perhaps
Atalanta extended the winning streak to 11 matches, beating Sampdoria-2:0
Milner played his 536th game in the Premier League and was ranked in the top 5 of the League in games played
Barca midfielder Fati is removed in the Derby with Espanyol. He spent 5 minutes on the field