logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo logo
star Bookmark: Tag Tag Tag Tag Tag
Uganda

Mutabani w'akulira ISO Brian Bagyenda yezooba na gw'akutta eyali muganzi we

By Alice Namutebi

Mutabani w'akulira ISO Brian Bagyenda yezooba na gw'akutta eyali muganzi we

Baj1 703x422

Brian Bagyenda abagambibwa okutemu eyali muganzi we n'afa omulambo gwe ne gusangibwa mu kibira e Namanve

MUTABANI wakulira ekitongole ekikkesi ekya ISO, Brian Bagyenda agaanye okwewozaako mu kkooti mu musango gw’okutta muganzi we Enid Twijukye.

Bagyenda aleteddwa mu kkooti enkulu okunnyonnyola ebyaliwo kyokka looya we Nsubuga Mubiru  n'ategeeza omulamuzi  Moses Kazibwe Kawumi nti basazeewo Bagyenda asirike era talina kyagenda kunyonyola kkooti.

Omulamuzi asoose kumunnyonnyola engeri 3 mwasobola okuyita okwewozaako omuli okusooka okulayira, obutalayira oba okusirika natabaako kyayogera ye kwekulondako ekyokusirika.

Ategeezezza nti yadde nga asazeewo kusirika agenda kuyita abajulizi 3 okuli muganda we Frances Nantamu n’omusawo we ddwaliro e Butabika Dr. Brian Mutumba okumuwolereza era balage ne kkooti nti yalina ekikyamu ku mutwe.

Wiiki ewedde omulamuzi Kazibwe yalagira Bagyenda yewozaako oluvanyuma lwokuwulira obujulizi bw'abntu 16 nga bwonna bulumika Bagyenda nti yeyatta Twijukye nga amutebereza okubaayo n’omusajja omulala.

Okusinziira ku bujuliz bw’oludda oluwaabi Bagyenda yayambibwako banne Vicent Rwahirwe ne Innocent Bainomugisha nga bano bebasiba Twijukye emiguwa ne “soloteepu” ku miwa olwo Bagyenda namuttisa “piro” gyeyamunyiggiriza mu feesi nalemwa okussa.

Twijukye yafiira ku mwayak 22 mu January 2017 era yali asoma ku yunivasite e Ndejje. Omulambo gwa Twijukye poliisi yagusanga mu kibira kye Namanve nga gutandiise okuvvunda

Themes
ICO